Jeremiah 39:1-10

1 aMu mwaka ogwomwenda ogw’obufuzi kwa Zeddekiya kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw’ekkumi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, n’alumba Yerusaalemi, n’eggye lye lyonna, n’akizingiza. 2Ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi ogwokuna ogw’omwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi kwa Zeddekiya, ekisenge ky’ekibuga kyabotolwa. 3 bAwo Nerugalusalezeeri, ne Samugaluneebo, ne Salusekimu, ne Labusalisi, ne Nerugalusalezeeri, ne Labumagi, n’abakungu abalala bonna aba kabaka w’e Babulooni ne bajja ne batuula mu mulyango ogwa wakati ogwa Yerusaalemi. 4Awo Zeddekiya kabaka wa Yuda n’abaserikale be bonna bwe babalaba ne bava mu kibuga kiro ne badduka; ne bayita mu nnimiro ya kabaka, nga bayita mu mulyango wakati w’ebisenge ebibiri, ne boolekera Alaba. 5 cNaye eggye ly’Abakaludaaya ne libagoba ne lisanga Zeddekiya mu nsenyi ez’e Yeriko, ne bamuwamba, ne bamuleeta eri kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni e Libuna mu nsi y’e Kamasi; n’amusalira eyo omusango. 6Kabaka w’e Babulooni n’attira batabani ba Zeddekiya mu maaso ga kitaabwe e Libuna, era kabaka w’e Babulooni n’atta abakungu ba Yuda bonna. 7 dNebukadduneeza n’aggyamu Zeddekiya amaaso, n’amusiba mu masamba n’amutwala e Babulooni.

8 eAbakaludaaya ne bookya ennyumba ya kabaka n’ennyumba z’abantu, ne bamenya n’ebisenge bya Yerusaalemi. 9 fAwo Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye n’atwala abantu abaali basigaddewo mu kibuga, n’abo abaali bamwegasseeko, n’abo abaali basigaddewo mu bifo ebirala, e Babulooni. 10Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye, n’aleka abamu ku bantu abaavu abaali batalina kantu, mu nsi ya Yuda; n’abawa ebibanja n’ennimiro z’emizabbibu.

Copyright information for LugEEEE